Genesis 46

Yakobo Agenda e Misiri

1 aAwo Isirayiri n’addira byonna bye yalina, n’atandika olugendo; bwe yatuuka e Beriseba n’awaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.

2 bKatonda n’ayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro, n’amuyita nti, “Yakobo, Yakobo?”

N’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”

3 cKatonda n’amugamba nti, “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo; totya kuserengeta Misiri, kubanga ndi kufuulirayo eyo eggwanga eddene. 4 dNzija kuserengeta naawe e Misiri, era ndi kuggyayo; era olifiira mu mikono gya Yusufu.”

5 eAwo Yakobo n’ava e Beriseba, batabani be ne bamutwalira wamu n’abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe ne babassa mu magaali Falaawo ge yaweereza okumutwala. 6 fEra ne batwala ebisibo n’ebintu byabwe bye baafunira mu nsi ya Kanani ne batuuka e Misiri, Yakobo wamu n’ezzadde lye. 7 gBatabani be ne bazzukulu be, bawala be n’abaana ba bawala be; ezzadde lye lyonna n’alireeta mu Misiri wamu naye.

Abaana n’Abazzukulu ba Yakobo

8 hGano ge mannya g’abazzukulu ba Isirayiri abaagenda e Misiri ne Yakobo:

Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye,
9 ine batabani ba Lewubeeni:
Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.
10 jNe batabani ba Simyoni:
Yamweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali ne Sawuli omwana w’omukazi Omukanani.
11 kNe batabani ba Leevi:
Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
12 lN’aba Yuda:
Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi ne Zeera; naye bo Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani.
Batabani ba Pereezi baali:
Kezulooni ne Kamuli.
13 mBo aba Isakaali baali:
Tola, ne Puva, ne Yobu ne Simuloni.
14 nBatabani ba Zebbulooni baali
Seredi, ne Eroni ne Yaleeri.
15Abo be batabani ba Leeya be yazaalira Yakobo nga bali mu Padanalaamu, omuwala ye yali Dina. Abaana bonna aboobulenzi n’aboobuwala baali amakumi asatu mu basatu.

16 oBatabani ba Gaadi baali
Zifiyooni, ne Kagi, ne Suni, ne Ezuboni, ne Eri, ne Alodi ne Aleri.
17 pBo batabani ba Aseri be bano:
Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya
awamu ne Seera mwannyinaabwe.
Bo Batabani ba Beriya baali
Keba ne Malukiyeeri.
18 qBano be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya muwala we, be yazaalira Yakobo; abantu kkumi na mukaaga.

19 rBatabani ba Laakeeri, mukazi wa Yakobo be bano
Yusufu ne Benyamini.
20 sAba Yusufu ng’ali e Misiri baali Manase ne Efulayimu, Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira.
21 tNe batabani ba Benyamini be ba:
Bera, ne Bekeri, ne Asuberi, ne Gera, ne Naamani, ne Eki, ne Losi, ne Mupimu, ne Kupimu ne Aludi.
22Abantu abasibuka mu Laakeeri mukazi wa Yakobo baali kkumi na bana.

23Mutabani wa Ddaani ye
Kusimu.
24Bo aba Nafutaali be ba:
Yazeeri, ne Guni, ne Yezeri, ne Siremu.
25 uBano be baava mu Biira mukazi wa Yakobo, Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we; bonna be bantu musanvu.

26 vAbantu bonna aba Yakobo abajja mu Misiri, ab’enda ye nga totaddeeko baka baana be, baali abantu nkaaga mu mukaaga. 27 wBatabani ba Yusufu abaamuzaalirwa ng’ali mu Misiri baali babiri. Abantu bonna ab’ennyumba ya Yakobo abajja e Misiri baali nsanvu
Awamu kigamba nsavu mu bataano
.

Okutuula e Misiri

28 yYakobo n’atuma Yuda eri Yusufu ajje amusisinkane mu Goseni, ne batuuka e Goseni. 29 zAwo Yusufu n’ateekateeka eggaali lye n’agenda okusisinkana Isirayiri kitaawe e Goseni, n’amweraga, n’amugwa mu kifuba n’akaabira mu kifuba kye okumala akabanga.

30Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Kale kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go ne ntegeera nti okyali mulamu.”

31 aaYusufu n’agamba baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe nti, “Nzija kugenda eri Falaawo mugambe nti, ‘Baganda bange n’ennyumba ya kitange abaali mu nsi ya Kanani bazze gye ndi. 32Kyokka balunzi; balunda ente era baleese amagana gaabwe n’ebisibo byabwe ne byonna bye balina.’ 33 abKale Falaawo bw’abayita n’ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’ 34 acMumuddemu nti, ‘Abaweereza bo kasookedde tuzaalibwa tuli balunzi, ffe ne bajjajjaffe.’ Mulyoke mubeere mu nsi ya Goseni, kubanga abalunzi baamuzizo eri Abamisiri.”

Copyright information for LugEEEE